Introducing a New Lexicographical Model: AlphaConceptual+ (and How it Could Be Applied to Dictionaries for Luganda)
Trefwoorden:
kannankuluze ow'ekiwalifu, kannankuluze ow'ebitegeero, wabitegeero, enkuluze nnamiramwa, enkuluze y'emitwe, enkuluze y'enfaananyamakulu, enkuluze y'ebifaananyi, enkuluze ennyinyonnyozabifaananyi, enkola ya kannankuluze empya, ennawalifubitegeero , lug
Samenvatting
Ekifunze: Okwanjula Enkola ya Kannankuluze Empya: EnnawalifuBitegeero+ (n'engeri gy'eyinza okukozesebwamu mu nkuluze z'Oluganda). Mu lupapula luno tutunuulidde obusobozi bw'okugatta enkola z'okuwandiika enkuluze omuli ey'ekiwalifu, ey'ebitegeero n'ennyinyonnyozabifaananyi, wano kye tutuumye enkuluze ennawalifubitegeero+, nga tukozesa Oluganda ng'ekyokulabirako. Enkuluze ey'engeri eno eba ejja kugatta emiganyulo gya kannankuluze ow'ekiwalifu n'ow'ebitegeero, ng'ennyingizo zonna era ziyungiddwa ku bifaananyi ebizituukirako. Mu Kitundu 1 tulombojja ebyafaayo bya kannankuluze w'Oluganda, nga tumenya ebika by'enkuluze eby'enjawulo mu Luganda okuviira ddala ku ntandikwa y'emyaka gya 1900. Ekitundu 2 kinnyonnyola kannankuluze ow'ekiwalifu n'ow'ebitegeero. Mu Kitundu 3 ne 4 tutunuulira akatale k'enkuluze kennyini mu Afrika n'ebiwandiiko by'ekiyivu ku nkuluze okwetooloola ensi yonna. Mu Kitundu 5 tuwa ensonga lwaki enkuluze ennawalifubitegeero+ yeetaagibwa mu Luganda, ne tuteesa n'engeri gy'eyinza okuwandiikibwamu mu Kitundu 6, ne tuzzaako okukubira mu Kitundu 7.Ebigambo Ebikulu: kannankuluze ow'ekiwalifu, kannankuluze ow'ebitegeero, wabitegeero, enkuluze nnamiramwa, enkuluze y'emitwe, enkuluze y'enfaananyamakulu, enkuluze y'ebifaananyi, enkuluze ennyinyonnyozabifaananyi, enkola ya kannankuluze empya, ennawalifubitegeero+, luganda
Gepubliceerd
2013-12-19
Citeerhulp
Kawalya, D., & de Schryver, G.-M. (2013). Introducing a New Lexicographical Model: AlphaConceptual+ (and How it Could Be Applied to Dictionaries for Luganda). Lexikos, 23(1). https://doi.org/10.5788/23-1-1210
Nummer
Sectie
Artikels/Articles
Outeursreg op alle materiaal wat in Lexikos gepubliseer is, berus by die Direksie van die Woordeboek van die Afrikaanse Taal. Dit staan skrywers egter vry om hulle materiaal elders te gebruik mits Lexikos (AFRILEX-reeks) erken word as die oorspronklike publikasiebron.